1Mukama afuga; ensi esanyuke, n’embalama eziri ewala zijaguze.
2Ebire n’ekizikiza bimwetooloola; obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.
3Omuliro gumukulembera ne gwokya abalabe be ku njuyi zonna.
4Okumyansa kwe kumulisa ensi; ensi n’ekulaba n’ekankana.
5Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama, mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.
6Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe; n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.
7Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde, abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole. Mumusinze mwe mwenna bakatonda.
8Sayuuni akiwulira n’asanyuka, n’ebyalo bya Yuda bijaguza; kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.
9Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi; ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.
10
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0 (creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0).
11Omusana gwe gwakira abatuukirivu, n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.
12Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu, era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.