1Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama; olowooze ku kunyolwa kwange.
2Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange, Ayi Kabaka wange era Katonda wange: kubanga ggwe gwe nsaba.
3Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange; buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange, ne nnindirira onziremu.
4Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi: n’ebitasaana tobigumiikiriza.
5Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go: kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
6Abalimba bonna obazikiriza; Mukama akyawa abatemu era n’abalimba.
7Naye olw’ekisa kyo ekingi, nze nnaayingiranga mu nnyumba yo: ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu n’okutya okungi.
8Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo, olw’abalabe bange, ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
9Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa; emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere. Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde: akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0 (creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0).
11Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga; ennaku zonna bayimbenga n’essanyu, obakuumenga, abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.
12Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa; era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.