1Mutendereze Mukama! Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna, mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
2Mukama by’akola bikulu; bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
3Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa, n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
4Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye, Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
5Agabira abamutya emmere; era ajjukira endagaano ye buli kiseera.
6Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi; n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
7By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya; n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
8manywevu emirembe gyonna; era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
9Yanunula abantu be; n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna. Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!
10
Biblica® Open Luganda Contemporary Bible™. Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 Biblica, Inc. Licensed under CC BY-SA 4.0 (creativecommons.org/licenses/by-sa/4.0).